Habakkuk 2

Obulamu eri Abatuukirivu

1 aKale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera
ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu
nnindirire ky’aliŋŋamba,
era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.
2 bAwo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,

“Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.
Kuwandiike bulungi
ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
3 cKubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
Kwogera ku by’enkomerero
ate si kwa bulimba.
Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,
kujja kutuukirira, tekugya kulwa.


4 d“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”

Akabi eri Aboonoonyi

5 eWeewaawo, omwenge mulimba
guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.
Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.
Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,
amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako
ne gugafuula abasibe.
6 f“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,

“ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye!
Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
7 gAbakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,
era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza?
Oliba togudde mu mikono gyabwe?
8 hKubanga onyaze amawanga mangi,
abantu abasigaddewo balikunyaga;
Oyiye omusaayi gw’abantu,
n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”

9 iZimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
azimba ekisu kye waggulu,
okwekuuma obutatuukwako kabi!
10 jWategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
11 kAmayinja g’oku bbugwe galikaaba,
n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.

12 lZimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
13 mTekyategekebwa Mukama ow’Eggye
nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,
n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
14 nKubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.

15Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira
asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
16 oOlijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
Naawe olinywa n’oswala.
Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,
n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
17 pEbikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
n’okutta ensolo, birikutiisa.
Osse abantu
n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.

18 q“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?
Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye
nga akola ebifaananyi ebitayogera!
19 rZimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’
Kino kisobola okuluŋŋamya?
Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,
so tekiriimu bulamu n’akatono.
20 sNaye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”
Copyright information for LugEEEE